Bya Mugula Dan
Poliisi erambuludde ku bajaasi b’eggye lya UPDF ababadde batambulira mu mmotoka ekika kya ‘Drone’ abalumbye poliisi ye Wakiso nebakuba abaserikale ababaddewo nga tebatalizza na muduumuzi wa Poliisi eno, Esther Kiiza ekintu ekivuddeko n’okuwanyisiganya amasasi.

Okusinziira ku Poliisi, abajaasi abenyingidde mu ffujjo lino babadde 13 nga ba kitongole ky’obwapulezidenti ekikuuma ettaka n’obutondebwensi kyokka nti okukola effujjo lino kiddiridde omuduumizi wa Poliisi ye Wakiso okugaana okwenyigira mu nteekateeka y’okugoba abantu ku ttaka nga bwebabadde bamusaba nga agamba ekibadde kimugambibwa okukola tekibadde mu mateeka na makubo malambulukufu. Wabula Poliisi etegeezezza nti abajaasi bano bakwatiddwa era bakuumibwa ku Poliisi nga bwebalindirira ekiddako