Bya Mugula Dan
Poliisi eyungudde basajja baayo ku biggwa by’abajulizi e Namugongo, eky’abakatuliki n’ekyabakulisitaayo.

Omwogezi wa police Rusoke Kituuma asiinzidde ku Media Centre mu Kampala, nagamba nti poliisi nga eri wamu n’ebitongole ebilala eby’okwerinda baywezezza buli wamu ebyokwerinda e Namugongo okuziyiza bakyala kimpadde n’obutujju okutuka ng’abalamazi bonna bwebanaaba bazzeeyo ewabwe.
Abalamazi benyogera okutuka kubiggwa by’abajulizi e Namugongo wano poliisi elabudde abalamazi obutagwa mubutengo bw’abafere n’ababbi abayinza okubawubisa okubatwalako ebyabwe . Abantu bakyajja mubungi okwetaba okujjukira abajulizi