Obunkenke: abanene mu kibiina bagobye Richard Sebamala mukuvugannya ku bwa Ssenkaggle bwa DP

Bya Mugula Dan

Obutakkaanya bweyongedde mu bannakibiina ba DP omu ku beegwanyiza obwa Ssenkaggale bw’ekibiina kino, Richard Sebamala bw’alumirizza Ssenkaggale wa DP, Norbert Mao okutwala abamu ku bakulembeze ba DP ewa Gen. Salim Saleh wakati nga Ttabamiruka w’ekibiina mwebagenda okulondera abakulembeze asembedde

Kyoka abawagizi b’omubaka wa Bukoto Central, Richard Sebamala omu ku beegwanyiza obwa Ssenkaggale bwa DP bavudde mu mbeera ne balumba ekitebe ky’ekibiina ekisangibwa ku Balintuma Road mu Kampala nga balumiriza Ssenkaggale waabwe era Minisita wa Ssemateeka n’ensonga z’essiga eddamuzi, Norbert Mao okuggya bammemba abamu ku lukalala lw’abantu abaneetaba mu Ttabamiruka w’ekibiina nga 30 omwezi guno e Mbarara mwebagenda okulondera abakulembeze b’ekibiina.

Richard Sebamala

Wabadde ayogeera ebyo nga abakulu mukibina bategeka okumufumula kutebe gyeyegwanyiza eya ssenkaggale bwe’kibiina nga bamulanga obutaba mujjuvu mu kibiina ki DP

Ng’ayogeerako eri abamawulire kukitebe kye kibiina Norbert Mao agambye nti yali yalabula Eng. Richard Sebamala aleke okwesimbawo kuba yali taweza bisanyizo bimukiriza kuvuganya kubwa Ssenkaggale bwe’kibiina ki DP.

Norbert Mao

Mao agambye nti Richard Sebamala ayina abanene mu kibiina kya NRM bakukutanabo abamuwa ssente bamusule mu kalulu k’ekibiina wabula abasekerede nti tewali agenda kumuwangula mukalulu.

Mao ategeezazza nti okutwala bamemba b’ekibiina ewa Gen Salim Saleh tebageze kusaba ssente wabula bageze kumwebuzako kubyobulimi nga bannayuganda okubayabako w’ebayinza okufuna Ttulakita .

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *