Ekibiina kya NRM kitaddewo ennaku w’ekigenda okulondesa obukiiko okuli ak
Bya Mugula Dan
Ekibiina kya NRM kitaddewo ennaku w’ekigenda okulondesa obukiiko okuli ak’abavubuka n’akabakadde.

Ng’ayogerako ne banamawulire kuwoofiisi NRM mu Kampala akulira akakiiko k’ebyokulonda mu kibiina kya NRM Dr Tanga Odoi ategeezezza nti abavubuka abegwanyiza ebifo by’obukiiko mu kibiina kya NRM okulonda kwabwe kugenda kutandika nga 29/5 /2025 .
Ono gambye nti buli muvubuka eyegwanyiza ekifo kubukiiko bw’abavubuka alina okuba nga kaada wa NRM, alina okuba mukitabo kya NRM, nga ali wakati w’emyaka 18 na 30 nga alina Ndagamuntu
Ate kukifo Ky’abakadde mukibina Kya NRM ab’egwanyiza balina okuba bali murigyesita ya NRM, emyaka wakati we 60 anatukiriza ebisanyizo yagenda okwetaba mukamyufu Ekibiina kye NRM bw’ategeezezza Tanga.
Mungeri yemu Tanga ategeezezza nti akakiiko k’ebyokulonda mu kibiina kya NRM kayise abakulembeze bona abalina okwemulugunya mukamyufu k’ekibiina nga 28 /5/2025 okugya okutesa kusonga zabwe.
Dr Tanga agambye nti akakiiko k’ebyokulonda mu kibiina kya NRM kataddewo nga 2 omwezi ogwo mukanga abegwanyiza ebifo bya palamenti abagenda okuvuganya mukamyufu k’ekibiina balina okukima empapula kukitebe kya kakiiko kebyokulonda mu kibiina nga basasudde ssente obukadde 3 mu banka ya Centenary
Ono alabudde abe Ssembabule okukomya okulwana kuba Ekibiina tekigenda kukumikiriza ntalo zabwe nga bataata ganya akamyufu Ekibiina w’ebatakikomye, akakiiko kebyokulonda mu kibiina kya NRM kagya kuyimiriza okulonda okwekibiina mubitundu bye Ssembabule ebitalonda wo balonde nga tuvudde mukalulu kabona mu 2026.