Bya namunye
Owek. Mathias Mpuuga Nsamba, atongozza ekibiina ky’ebyobufuzi ekiggya ekituumiddwa Democratic Front (DF )nga kino kivudde mu kisinde ki Democratic Alliance (DA) nga omukolo guno gubadde guyindira ku kitebe kya DA e Namirembe mu Kampala

Akabonero ka Democratic Front, gwe muti omunene ogukubiddwa mu Uganda ennene, nga langi zaakyo kuliko eya kiragala, Orange, ne bbululu owamazzi oba omutangaaavu

Owek.Mpuuga bw’abadde atongoza ekibiina kino ku wofiisi zabwe e Namirembe, agambye nti bali mu buwuufu obw’okubaga n’okusiimba emirandira gy’enkyukakyuka eyannama ddala mu nnambika y’obukulembeze bwa Uganda, etambulira mu mateeka, emirembe n’enkulaakulana.
Mpuuga asabye bannakibiina kino nebannakisinde kya Democratic Alliance baanirize omwana azaaliddwa , era bamusobozese okuzannya ebyobufuzi ebitambulira ku mulamwa oguzaamu bannansi essuubi, n’okulwanirira enkyuukakyuuka ezitambulira ku miramwa emituufu.
Ekisinde kya Democratic Alliance kyatongozebwa mwaka oguwedde 2024, era omukwanaganya waakyo Owek Mathias Mpuuga Nsamba yategeeza nti singa banaaba bagoberedde omulamwa gwakyo, ekisinde kino oba oli awo kyali kyakuvaamu ekibiina kyebyobufuzi bannakibiina abagala okwesimbawo mu mukago guno kwebaneesimbira, era ekyo kyekyanjuddwa