Bya Mugula Dan
Poliisi erabudde abavuzi b’ebidduka eby’engeri zonna, naddala abakozesa enguudo okugenda okutambulira Abalamazi aboolekera Namugongo, okwongera okufaayo n’okuvugisa obwegendereza okwewala ebiyinza okuddirira.
Poliisi esuubizza nti bakwongera obukuumi Abalamazi okukakasa nti batuuka bulungi e Namugongo nga tebafunye buzibu bwonna mu by’okwerinda byabwe