Bya Mugula Dan
ABATUUZE ku byalo 17 ebikola division y’e Bweyogerere mu munisipaali y’e Kira mu Wakiso disitulikiti bawonye okugabana amazzi n’ebisolo oluvanyuma lw’okubazimbira enzizi ez’omulembe ezikozesa amasanyalaze nga zino zazimbiddwa Ssentebe w’ekyalo Kireku Main Dickson Hakiza nga yakulira ba Ssentebe ba LC mu Division y’e Bweyogerere.

Oluzzi lw’omukatuba
Hakiza wabadde atongozza enzizi zino yatandikidde ku kyalo kye nga yatongoza enzizi biri n’oluvanyuma natongoza oluzi ku kyalo Katuba ekisangibwa okuliraana oluguudo wa Northan Bypass nga abeeno babadde mumbeera mbi ddala anti amazzi babadde basena mu budiba wamu nemunzizi ezibadde zaazibikira oluvanyuma lw’okukaddiwa nga abatuuze okufuna amazzi abamu babadde batindiga egendo kwosa abaana abato eky’obulabe eri obulamu bw’abwe.

Hakiza ng’atongoza oluzzi lw’omu katuba
Ono agamba okuslawo okudukirira abantu kyadirira okutukirira ekitongole ekimu ekisima amazzi ekya Global Human Salvage Organization Ltd okulaba nga babadukirira nobuyambi bwenzizi zino nebakiriza okuzisimira abantu nga LC omulimu gwaayo kufuna muntu nabawa ekifo awokuzimba oluzi abatuuze basobole okuzikozesa nga ebyalo 17 ebikola divison y’e Bweyogerere byakuganyulwa muntekateeka eno nekigendererwa eky’okubunisa amazzi amayonjo kubwereere wamu n’okumalawo endawadde ezibadde ziva ku mazzi.

Ssentebe Hakiza
Hussien Lutaaya Ssentebe w’ekyalo Katuba yebaziza Sentebe mune Hakiza olw’omutima okulumirirwa omuntu wabulijjo nategeeza nga ebanga lyamaze ku kitundu abadde tafunangako mukisa guno kyokka nga balonda ba Mmeeya ne ba Mp naye nga ensonga nga zino nga bazibuusa amaaso nebaleka abantu nga bali mumbeera embi era ono asabye abantu okukwata enzizi zino obulunji okusobola okuwangaala wabula nategeeza nga webagenda okutuula nga ekyalo balabe engeri gyebagenda okufunangamu ssente ezigula amasanyaaze agakozesbwa okusunda amazzi gano okuva mu ttaka.

Abatuuze nga bali ku mukolo
Ye Abass Mutaawe Ssentebe wa NRM ku kyalo Kireku Main eyawaddeyo ettaka ewazimbiddwa oluzzi asabye abatuuze okukwata obulungi pulojekiti ezibawereddwa kubanga zigenda kubayamba okukulakunya ebintundu byabwe nasaba Hakiza obutakoowa kusakira batuuze kubanga omukulembeze omulunji bamulabira ku mukulo gwaalese era neyeyama okutambula naye munsonga zonna nasaba n’abakulembeze abalala okulabira ku Hakiza.