Bya Mugula Dan
Omulamuzi wa Kkooti esookerwako e Masaka Abdallah Kayiza asindise Edward Ssebuufu amanyiddwa nga Eddie Mutwe ku alimanda e Luzira ng’eno gyagenda okuva agende mu Kkooti enkulu egenda okutandika okuwulira emisango egimuvunaanibwa .

Omulamuzi era alagidde Eddie Mutwe aweebwe obujjanjabi bweyeetaaga.
Wano Eddie Mutwe asabye omulamuzi wa kkooti esookerwako e Masaka okumusalira omusango bwaba agulina era ategeezebwe mu butongole nti atandise ekibonerezo era Kkooti emubuulire nelwekinagwako kubanga ebiriwo byonna biraga nti tajja kuyimbulwa ku kakalu.

“Nnyina wa Eddie Mutwe, mukyala we wamu n’abaana batuuse ku Kkooti e Masaka okubeerawo nga Kkooti ewozesa omuntu waabwe. Eddie Mutwe yakwatibwa gyebuvuddeko naggulwako emisango egitali gimu