LEKA KKOOTI ERAMURE

Bya namunye news

Omusajja Eremigio Mwesigwa Masagazi omutuuze ku kyalo Kalambi e Buloba mu Wakiso, akubye abajaasi ba UPDF okuli Capt. Frank Nyakairu n’omukuumi we Pte Simon Opolot mu mbuga z’amateeka ku bigambibwa nti baakuba mutabani we, Ivan Ssentongo amasasi nga 21 January 2025 n’afiirawo. 

Mwesigwa agamba, yafuna essimu nga bamutegeeza nti mutabani we yali akubiddwa amasasi n’afa kyokka agenda okutuuka mu kifo webamukubira amasasi nga kyetooloddwa Abaserikale ba UPDF. 

Ono kati ayagala kkooti eragire bano bamuliriyirire obukadde 500 nga agamba nti yakosebwa mu bwongo oluvannyuma lw’okufuna amawulire g’okufa kwa mutabani we.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *