Bya namunye news
Eyaliko Pulezidenti wa Uruguay era nga ye Pulezidenti akyasinze obwavu mu nsi, Jose Mujica afudde. Ono afiiridde ku myaka 89 oluvannyuma lw’okumala ebbanga nga alwanagana n’ekirwadde kya Kkookolo w’emimiro.

Jose Mujica
Jose Mujica ajjukirwa nnyo olw’okuvumirira okwejalabya nga ne bweyafuuka Pulezidenti, yagaana emmotoka ez’ebbeeyi, nazira n’amaka g’Obwapulezidenti era yasigala asula mu nju gyeyazimba ku Faamu ye.
Ono era yagaana abakuumi abangi n’oluseregende lw’emmotoka, ate nga n’ebitundu 90 ku 100 eby’omusaala gwe yasalawo biweebwe abantu abetaaga okubeerwa. Mujica yali Pulezidenti okuva mu mwaka gwa 2010 okutuuka 2015.