Nambi alaze omuwendo gw’obululu obutabalibwa bwasubira nti bwandimuwanguziza

Bya namunye news

Omusango ogwawabwa munna NRM Hajati Faridah Nambi Kigongo nga awakanya obuwanguzi bw’omubaka wa Kawempe North, Elias Luyimbazi Nalukoola gutandise okuwulirwa olwaleero mu maaso g’omulamuzi Bernard Namanya.

Munna NRM, Hajati Faridah Nambi Kigongo ayingidde mu kaguli okuwa obujulizi ku ngeri omubaka wa Kawempe North, Elias Luyimbazi Nalukoola gyeyanyagamu obuwanguzi bwe. Nambi ayagala kkooti esazeemu obuwanguzi bwa Nalukoolang’alumiriza nti akalulu kaalimu emivuyo egitagambika omuli okutiisaiisa abalonzi n’ebirala.

Olunaku lwenguro kooti enkulu mu Kampala yagobye okusaba kw’omubaka wa Kawempe North, Elias Luyimbazi Nalukoola mwabadde ayagalira omulamuzi amukkirize akunye Abajulizi beyamuwaabira, Faridah Nambi abawera 19. 

Nambi agamba akalulu kano kabbibwa saako okutiisatiisa abalonzi era ng’ayagala kkooti esazeemu obuwanguzi bwa Nalukoola.

 Nalukoola yawangula n’obululu 17764 ate ye Nambi n’afuna obulula 8593 mu kifo ekyokubiri. 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *