Bya namunye news
Banna kibiina kya NRM mu muruka gw’e Kira basabiddwa okukomya okwerumaruka kibasobozese okuwangula ebifo ebiwera mu kalulu ka 2026 mu Kira Munisipalte n’okwetoloola eggwanga lyonna

Olukiiko lw’omuluka gw’e kira olwalondeddwa
Bino ba byogeredde mu kulonda olukikko lw’ekibiina kino ku mutendera ogw’emiruka ku Don Courts e Kira ,mukawefube ekibiina kino gwekiriko okulonda obukikko bw’ekibiina ku mitendera egy’enjawulo okwetoloola eggwanga lyonna
Olukikko olulondeddwa ku mutendera kuliko ssentebe w’omuluka guno nga ye Lameka Muwanga nga ono azze mu bigere bya Jackson Twinomugisha , akakikko ka bavubuka kakulemberwa Gideon Byandala ,abaliko obulemu n’akakikko k’abakadde nga kakulembera Peninah Busingye amanyiddwa nga Maama Kisanja. Olukikko lw’omuruka luliko abantu asatu , ekibiina kya NRM kigamba kigenda kukozesa olukikko luno okusagula akalulu mu kalulu ka 2026
Akulira eby’okulonda mu Kira Division Mubiru asabye abakulembeze abalondeddwa okulwana ennyo bakomyewo obuwanguzi bwa NRM mu bifo byonna ebyaatwalibwa ebibiina bya Opozisoni mu Kalulu akawedde ,ate nebyo byebawangula bakunge abantu baddemu babironderemu abakulembeze nga ba NRM
Edison Tumwebaze amyuka ssentebe w’omuluka gwa Kira ate nga yegwanyizza ekifo ky’omubaka wa Kira Municipality asabye banna kibiina bakolagane bulungi bave mukwerumaruma bakozese ebifo byabwe basagulire ekibiina obuwagizi.

Niwagaba ayagala obubaka bwa palamenti bwe Kira
Edison ayongeddeko nti obumu bwebalina mu muruka gwabwe gubasobozesezza abamu okulekera banna bwe ku lw’obulungi bw’ekibiina abamu nebayitawo nga tebavuganyiziddwa
Ate Bright Niwagaba ono nga naye alondeddwa ku lukiiko lw’omuruka ate naye yegwanyizza ekifo ky’omubaka wa Kira Municipality ategezezza nti obukikko bwemiruka bugenda ku bayamba okutambuza etekateeka zebariko okusagulira ekibiina kya NRM obuwagizi era n’obumu obwoleseddwa nga balonda bugenda okufuna kandidenti omu ku buli kifo eriko abantu abasoba mu babiri nga tebakoze buvuyo ebiseera by’okulonda akamyufu wekinaaba kituuse