Allan kuwadde e ssaawa 9 ez’olwaleero nga wetonze -Luswa

Bya namunye news

Eyali omuyambi w’omugenzi Muhammad Ssegirinya, Luwemba Luswa awadde omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana nsalessale wa ssaawa 9 ez’olwaleero nga avuddeyo n’atangaaza ku bigambo byeyayogeredde ku kitebe kya NUP ng’alumiriza Owek. Mathias Mpuuga nti yeyabasibisa ye ne Ssegirinya bwebaakwatibwa ku misango gy’ebijambiya mu mwaka gwa 2021 e Masaka.

Luswa agamba tewali kyatamanyi ku nsonga z’okusibwa kwabano n’engeri gyebaava mu kkomera. 

Luswa ayongeddeko nti singa ziwera ssaawa 9, nga Ssewanyana tavuddeyo kwogera muntu mutuufu yali mabega wakusibwa kwabwe agenda kumwabya ku ssaawa 10 era n’amulabula obutakozesebwa kwogera bitajja olw’okuba ayagala kkaadi y’ekibiina.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *