Abakungubazi basse omusirikale wa police e Ibanda

Police yakakwata abantu 29 abateeberezebwa  okukkakana ku musirikale wa police PC Chemonges Sulaiman nebamukuba nebamutta mu district ye Ibanda.

Chemonges ng’abadde akolera ku police ye Bisheshe mu district ye  Ibanda yabadde asindikiddwa okukuuma abakungubazi mu kuziika mu kitundu ekyo.

Omwogezi wa police Rusoke Kituuma agambye nti byebaakazuula biraga nti abatuuze baamulumbye ku saawa nga munaana ogw’ekiro ne bamukuba okutuusa lwebaamusse.

Baamuteeberezza nti yoomu ku baakwata munabwe Kahangire Nyabuhikye eyafiiride mu kkomera lya government e Ibanda wiiki ewedd

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *