Bya namunye
Eyali Omumyuka wa Pulezidenti wa Kenya Rigathi Gachagua asimattuse okufiira mu lumbe e Limuri mu Ssaza lye Kiambu ekisangibwa mu Kenya oluvannyuma lw’ekibinja ky’abavubuka abaavudde mu mbeera nebamutwala emisinde okukkakkana ng’emmotoka mw’abadde atambulira eyonooneddwa.
Rigathi Gachagua
Gachagua bino abitadde ku Pulezidenti Wiliam Ruto eyamuggyako obukuumi kyokka n’atakoma okwo n’atuuka n’okupangisa abantu abatamanyiddwa nebagezaako okumutuusaako obulabe.