ABANTU 13 BAZIIKUDDWAYO NGA BAFUDDE ETTAKA LIBUMBULUKUSE MU DISITULIKITI YE BULAMBULI NERIZIIKA AMAYUMBA

Bya namunye

Abantu abasoba mu 30 bateeberezebwa okuba nga bafiiridde mu kubumbulukuka kw’ettaka ku kyalo Masugu ne Kimono mu gombolola ye Buluganya mu disitulikiti ye Bulambuli.

Ettaka libumbulukuse mu kiro ekikeesezza leero nga 28 November,2024, oluvannyuma lw’enkuba eyasiibye ng’efudemb mu kitundu ekyo.

Bulambuli ettaka libumbulukuse

Omusinziira ku mubaka wa president e Bulambuli Hajjati Faheera Mpalanyi, waliwo abateeberezebwa okuba nga bakyali mu bifunfugu by’amayumba agasoba mu 20 agaziikiddwa ettaka, ate abalala bakuluggusiddwa ettaka era nga tebanazuulwa gyebawagamidde.

Entambula nayo esannyaladde olw’omugga Simu ogubooze negumenya olutindo olugatta egombolola ye Simu ne ye Soti.

Omugga Nabyonga nagwe gubooze negwanjaala mu mayumba g’abantu n’amaduuka.

Mu ngeri yeemu abantu abaliraanye ebitundu by’ensozi mu district okuli Sironko, Manafwa, Mbale, Buduuda ne Namisindwa nabo bali ku bunkenke

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *