AKATALE KE BUSEGA AKAPYA KAGGUDDWAWO ERI ABASUUBUZI-MINISITA WA KAMPALA ALABUDDE

Bya namunye

Akatale ka Busega akapya kagguddwawo eri abasuubuzi okutandika n’Olwokuna nga November 28, 2024, oluvannyuma lw’okumaliriza obulungi.

Enkulakulana eno etegeeza nti obutale obw’ekiseera obuli ku nguudo z’e Busega tebujja kubaawo.

Gavumenti yatandika okuzimba akatale kano mu mwaka gwa 2015 ng’eyita mu pulojekiti ya Markets and Agricultural Trade Improvement Programme (MATIP) ng’eyita mu kusonda ssente ez’awamu ne Arab Bank of Economic Development in Africa (BADEA).

Ku Lwokuna, ekitongole kya Kampala Capital City Authority (KCCA) kyasembye okuggulawo akatale kano eri abatunzi.

KCCA yategeezezza nti yataddewo akakiiko akagaba ensimbi nga kalina obuvunaanyizibwa Okulonda ebitongole ebikwatibwako okusobola okuddukanya obulungi akatale okukola omulimu gw’okuwandiisa buli mutunzi ng’omudaala gutudde, okukakasa nti tewali mutunzi akwata mudaala ogusukka mu gumu.

Akakiiko era kagenda kussa mu nkola enkyukakyuka yonna ezeetaagisa oba okuyingira mu nsonga okulaba ng’akatale katambula bulungi.

Akatale kano kalina obusobozi okusuza abasuubuzi 4,00O, nga kalimu ebifo 1,500 we bakolera omuli ebisaawe, emidaala, ebizibiti.

Akatale kano era kalimu ebifo eby’okulya, enteekateeka y’ekisenge ekinyogovu, n’ekifo ekimala we basimbye mmotoka.

“Okugatta ku ekyo, tukolagana ne minisitule y’emirimu n’entambula okulaba ng’enkozesa y’ekifo ekyetoloola e Busega ekyali kikalu okukendeeza ku mugotteko gw’ebidduka mu bitundu ebiriraanyewo,” KCCA bwe yategeezezza.

“Gavumenti ya Uganda yeewaddeyo okuwa ebifo ebimala okukoleramu n’okutumbula ebizimbe okwetoloola ekibuga,” ekitongole kino bwe kyayongeddeko.

KCCA yalaze essuubi nti akatale kano akapya ka kukuza enkulaakulana mu by’enfuna n’embeera z’abantu ate nga kalongoosa entambula.

“Twebaza abatunzi n’obukulembeze bw’ekibuga olw’enkolagana nga bwe tukolagana okufuula akatale ka Busega ekifo ekituuse ku buwanguzi.” KCCA bwe yategeezezza.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *