poliisi ekutte bakifeesi n’enjaga ekika Kya opium

Bya Mugula Dan

poliisi y’omu Kampala n’emirilaano ekoze ebikwekweto mu bitundu bye; Kitintale , Portbell , Luzira ne Kifuufu n’ekwata abantu 19 abagambibwa okwenyigira mu bumenyi bw’ amateeka. Omwogezi wa Poliisi mu Kampala  n’emiriraano Patrick Onyango etegeezezza nti ebitundu bino bibadde biyitiriddemu okutunda enjaga n’okutigomya abantu.  Onyango ayongeddeko nti Poliisi era yakutte abantu 30 mu divizoni ya Kira nga bano baasangiddwa n’enjaga ekika kya “Opium” , 47 nebakwatibwa  e Mukono n’abalala  20 nebakwatibwa wano mu Kampala ku nsonga zeezimu era nga bano bakuumibwa ku Poliisi ya CPS

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *