Bya namunye
Ekibiina kya FDC ekiwayi kye Katonga kiyungudde tiimu y’abanna mateeka 50 abagenda okuwoza emisango egyaggulwa ku Rtd.Col. Dr. Kizza Besigye oluvannyuma lw’okukwatibwa bebyokwerinda nga b’amugya mu kibuga Nairobi ekya Kenya
Martha Karua
Banna mateeka bano bagenda kukulemberwamu Martha Karua okuva mu ggwanga lya Kenya, ng’ono yeyali ayise Kiiza Besigye ng’omugenyi we owenjawulo, ng’atongoza akatabo keyatuuma “AGAINST THE TIDE “.
Akolanga president w FDC Katonga Ssalongo Erias Lukwago yayanjudde enteekateeka eno, bwabadde eyogerako ne banna mawulire ku Katonga Road mu kibuga Kampala.
Lukwago agambye nti banna mateeka bano 50 batandiise okukola ku mpapula zabwe ezibakkiriza okuwoleza wano mu Uganda, era nga 2 December Besigye lwakomezebwaawo mu kooti bebagenda okukulemberamu okuwoza omusango guno.
Besigye yawambibwa ne munne Obed Lutale nga 16 November,2024 nebakomezebwawo wano mu Uganda, wabula baddamu okulabwako nga 20 November,2024 nga baleeteddwa mu kooti y’amagye e Makindye mu Kampala Uganda nebaggulibwako emisango 4 egy’okusangibwa n’ebyokulwanyisa saako okubeera mu lukwe lw’okwagala okutabangula Uganda.
Ssalongo Erias Lukwago agambye nti basazeewo n’okugenda mu kooti ya East African Court of Justice ebayambeko eyimirize ekiwamba bantu mu mawanga okuli Kenya ne Uganda.
Wabula olukungaana bweluwedde banna kibiina kino bafulumye bolekere ekitebe kya Kenya, wabula bangi ku bbo okuli n’omubaka Ibrahim Ssemujju Nganda , ne Ingrid Tulinawe nabalala police ebayodde bakafuluma era kati bakuumibwa ku police ya CPS mu Kampala.