Omusilikare akubye banne amasasi omu amusse

Bya namunye

Omujaasi mu ggye lya UPDF erirwanira mu nsozi, Lukwag Isaac akubiddwa amasasi agamuttiddewo, bweyeesuddemu akambayaaya naakuba banne Amasasi, agasseeko omu n’okulumya abalala.

 Lukwag Isaac okuva mu Nkambi ya UPDF esangibwa e Rusese mu disitikiti ye Kasese, yeesozze Ennyumba ya muserikale munne nagyayo Emmundu, naatandika okusasira Amasasi era okukkakkana nga omujaasi Alebu Joel alumiziddwa.

Lukwag oluvannyuma yaddukidde mu Nkambi ye Kamukumbi eri ku nsalo ya Uganda ne Congo, gyeyakubidde muserikale munne Omulala Solomon Kule Amasasi agamuttiddewo.

Abajaasi abalala  bagezezaako okumuggyako Emmundu ebbiri zeyabadde awambye,  kwekutandika okuwaanyisiganya Amasasi ne banne, okukkakkana nga bamumizizza omusu.

Omwogezi w’Ekibinja kya UPDF ekirwanira mu nsozi n’ekikwekweto Shuja Maj Biral Katamba, agambye nti Abajaasi abakoseddwa  bajdnjabiddwa era basuubirwa okussuuka.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *