Abaali bakulira KCCA bayimbuddwa ku kakalu ka kooti

Omulamuzi wa kooti ento e Kasangati Beatrice Khainza akkiriza okusaba okwatekebwayo banamateeka baabaali bakulira KCCA  okuteebwa ku kakalu ka kooti

Abayimbuddwa ye yali ssenkulu wa KCCA Dorothy Kisaka, omumyuka David Luyimbaazi ne Dr.Daniel Okello eyali akulira eby’obulamu,  bayimbuddwa   ku kakalu ka kooti ka bukadde bwa shs butaano obw’obuliwo, ate  ababeyimiridde balagiddwa okusasula obukadde bwa shs 100 ezitali zabuliwo.

Balagiddwa okuwaayo passport zabwe mu kooti, era nebalagibwa omutagezaako kufuluma ggwanga nga tebasoose kufuna lukusa lwa kooti.

Wabula oluvanyuma lw’omulamuzi okubayimbula ku kkakalu, abantu babwe bayisizza ebivvulu.

Abasatu bano bavunaanibwa okulagajjalira emirimu gyabwe, ekyaviirako kasasiro w’e Kiteezi okubumbumbulukuka natta abantu abasoba mu 35 saako okuziika amayumba agawera.

Bakudda mu kooti nga 26 November, 2024 kooti lwenaddamu okuwulira ensonga zabwe

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *