Lwaki M7 mu kitongole Kya KCCA atademu bambega okulwanyisa enguzi,

Bya Mugula Dan

kolanga Ssenkulu wa kitongole Kya KCCA Frank Rusa agambye nti kaweefube w’okutuukiriza entegeka y’ebyobusuubuzi mu Kibuga, KCCA emaze emyaka musanvu ng’ekwata n’okuvunaana abasuubuzi b’oku nguudo, okusiba ebintu byabwe eby’obusuubuzi nga kw’otadde n’okulondoola buli kiseera enguudo okulaba nga tebalina batunda.

Ssenkulu wa KCCA Frank Rusa

Wabula ekimu ku bisinga okusoomoozebwa mu kulwanyisa abatebenyi kwe kuba nti abantu bonna mu kibuga bakyagenda mu maaso n’okuwagira ebikolwa ebimenya amateeka eby’abatunzi n’abasuubuzi nga bagenda mu maaso n’okugula ebintu byabwe wadde nga balina okumanya nti omuze guno amateeka gaguvumirira Rusa w’eyategezeeza

KCCA ebadde ekola kaweefube okuzuula ensonga ezisikiriza abasuubuzi okujja ku nguudo omuli.

Enguudo zino ziwa bakasitoma abangu okusinga embeera y’obusuubuzi entongole, oluusi esangibwa mita nnyingi okuva ku luguudo.

Okwewala okusasula ssente z’akatale ne ssente za layisinsi.

 Mugeri yemu Ssenkulu wa KCCA ayolekedde okugenda mu maaso n’okutumbula omutiddo gw’obutale n’okugaziya ebifo eby’obusuubuzi mu kaweefube w’okutumbula embeera z’abatunzi okwetoloola ekibuga.

  Rusa , bwe yabadde asisinkanye abamawulire ku city hall okubabulira byagenda okukola agambye nti obutare bwa gavumenti 16 obuddukanyizibwa KCCA bona bugenda kudda kumulembe abasuubuzi basobore okubweyagaliramu.

Rusa yakikkaatirizza nti KCCA etaddewo ensimbi naddala okulongoosa ebizimbe mu butale bwa gavumenti, ekintu ekigendereddwamu okutondawo embeera ennungi eri abasuubuzi.

“Twewaddeyo okutumbula embeera y’obutale bwaffe okusobola okuwagira emirimu gy’ebyenfuna, okutumbula obuyonjo, n’okulaba ng’abatunzi bonna bafuna embeera ennungi ey’okukoleramu,” Rusa bwe yagambye.

Obutale obumu bwalaba dda enkulaakulana ey’amaanyi. Okugeza obutale bw’e Bukoto, Kiswa, ne Namuwongo bubaddemu eby’obuyonjo eby’omulembe omuli kaabuyonjo empya, ate akatale ka St Balikuddembe ne kateekebwamu amataala g’enjuba n’okuteeka wansi ebipya ebya kkoolaasi okusobola okutumbula eby’okwerinda n’obuyonjo.

Mu kaweefube w’okulwanyisa obuli bw’enguzi mu KCCA, Rusa wa  atuukidde ku bukulembeze nti tagenda kukiliza mukozi wa kitongole kino gweyigira mubulyake era bamaze okutekawo babega ba CID mudda mukitogole okulwayisa abetabye mukikolwa kino .

Rusa  ng’ali wamu n’omumyuka we; basaba wabeewo omukago ogw’okulwanyisa obuli bw’enguzi kyebava bayigizamu babegga mukitogole okukwata abo bona abanabba ssente za gavumenti era bakutwalibwa.

Obuli bw’enguzi bukendeeza ku mutindo gw’emirimu gya gavumenti n’ebizimbe, bukyusakyusa okusalawo kwa gavumenti ku nsaasaanya, bukendeeza ku nsimbi z’omusolo ne kasitooma, n’okwonoona obwesige mu nfuga y’amateeka Rusa w’eyategezeeza.

“Wadde nga waliwo kaweefube yenna n’ebikozesebwa ebiteekeddwa mu kuteekawo enkola y’okumalawo obuli bw’enguzi mu bakozi ba KCCA, ekula n’amaanyi okutuuka kati twagala okugimarawo,” Rusa bwe yagambye.

Rusa agamba nti kyewaddeyo okulwanyisa obuli bw’enguzi mu kitongole kino n’okulaba nga banakibuga bafuna omugaso ku ssente ze bawa Kcca nga omusolo.

“Siyinza kukikola nzekka, nneetaaga buli munakibuga era y’ensonga lwaki ndi wano okukolagana n’obukulembeze bwa KCCA,” Rusa bwe yategeezezza.

Abikudde ekyama nti agenda kutondawo ekitongole eky’enjawulo okuyamba KCCA okukola ku misango gy’obuli bw’enguzi 

omulimu gw’okuddaabiriza enguudo mu kibuga yeeyongedde amaanyi ng’enguudo eziwerako zinaatera okuggwa omuli Wamala,  ne Luwafu Rusa w’eyagambye

Enguudo endala enkulu ng’enguudo za Old Mubende ne Kigala nazo zigenda mu maaso bulungi, nga ttaamu zaateekebwa dda.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *