Bya namunye news
Abalangidde okuba ne kyekubiira n’okukozesebwa okukuba NUP
PULEZIDENTI wa NUP, yasinzidde ku kitebe e Makerere- Kavule, ne yeewunya ebikolwa bya Radio ya Kabaka CBS nti abantu gye bujja bayinza okugiraba nga Leediyo etambuza PULOPAGANDA.

Bobi, yagambye nti emirundi mingi, abakulira radio eno, baagufuula muze okukyaza bannabyabufuzi ng’ekigendererwa kyabwe kya kuvuma, okukkakkanya n’okutyoboola NUP.
Nti baleeta emiramwa nga gyetoololera ku NUP, kyokka tolibalaba nga bayise Bobi, oba kale n’ebikonge mu NUP okwerwanako n’okusaabulula obulimba okubeera bwogeddwa.
Kinajjukirwa nti bankubakyeyo, bwe baateeka Meddie Nsereko ku nninga, annyonyole lwaki leediyo yaabwe yafuuka ya kukuba NUP, yagamba naye abantu baakyaza ssi y’asalawo bajje nti banenya wa bwereere n’abagamba nti “Mubuuze Mayiga”.
Akulira ebiweerezebwa ku mpewo za CBS ye Abby Mukiibi ate Alex Nsubuga ye musunsuzi w’amawulire ga CBS FM 88.8 olwo Esther Wamala n’asunsula aga 89.2.