ABE KATONGA MWASUKKA EMPUTTU -FDC NAJJANANKUMBI

Bya Mugula@namunye news

Abe Najjanankumbi batabukidde abatula ekatonga nga babalumiriza okudda emabega wa NRM okwagala okusanyawo e FDC

Nga basinziira mu lukung’aana lw’ekibiina olw’omulundi ogwa 18 olutudde leero ku Forum Democratic change FDC abakulembeze okwetolola eggwanga lyona basisinkanye ku kitebe kye kibiina kyabwe eNajjanankumbi okukubaganya ebirowozo ku nsonga ezitali zimu mu kibiina nga twolekera akalulu kabona aka 202

Jack Sabiiti na bakulembeze abalala baakozesezza omukisa gw’olukungaana lw’abakulembeze b’kibiina kino ekya FDC ne bakolokota ab’ekatonga okwagala okutekawo enjawukana mu bawagizi be kibiina 

Banafe ab’ekatonga bali batuufu okwegoba mu kibiina kya FDC kuba bali basusse emputtu n’amafandali ng’abayinza okwonoona abawagizi kibiina kyabwe w’eyategezeeza Sabiiti

Ate ye omubaka wa Chua west mulukiiko olukulu olw’egwanga Okin Ojara okuva mu disitikiti eye kitigumu ng’ono yali yegase kukiwayi kye katonga akomyewo eNajjanankumbi neyeyama okutambulira awamu nabakulembeze abaddukanya ekibiina kino 

Okusinzila ku mwogezi we kibiina kino John Kikonyogo atubulidde nti e zimu kunsonga ze bagenda okubaganyako e birowozo mwemuli n’okuyisa, budget ye kibiina eyomwaka ogujja, okubaganya e birowozo ku alipoota eyava mu okutalaaga e ggwanga ggyebuvuddeko, ate nokukakasa  abakulembeze abaggya abakakiiko ke byokulonda mu FDC abanateekateeka akamyufu ke kibiina

Olukiiko luno lwetabiddwamu abakiise okuva mu disitikiti zoni ezikola Uganda , pulezidenti wekibiina Patrick Amuriat Oboi, Ababaka bapaliyamenti abakyakiririza mubukulembeze bwa Amuriat era nga olutuula lusubirwa okuvamu ebibala.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *