Bya namunye news
Ekitongole ekivunanyizibwa ku bigezo mugwanga ekya ”Uganda National Examinations Board”, (UNEB), kikutte abasajja 2 nebasimbibwa mu mbuga z’amateeka, ku bigambibwa nti babadde beyita abakungu bakyo era nti babadde balina empapula z’ebibuuzo byebatunda nga bagamba bya UNEB w’omwaka guno.
Abakwate kuliko Ejagu Moses era abadde yeeyita ‘Prof Moses VIP.

Ono yomu kubakwatiddwa ekitongole kya UNEB
Kigambibwa alina banne bebabadde beeyita abakungu ba UNEB nebabba amasomero nga babafera okubafunira ebigezo bya UNEB, ebigenda okutuulibwa omwaka guno.
Olukwatiddwa neyetonda eggwanga era naasaba asonyiyibwe, kyokka akakasizza nti alina amasomero okuli Adiku school erisangibwa mu mambuka ga Uganda, Jerusalem Primary school mu western Uganda babadde amaze okuggyako ssente naabalala ngabafera okubawa ebibuuzo.
Jennifer Kalule Musamba ayogerera UNEB agambye nti abantu ng’ono bebavumaganya ekitongole era bakubakolako ebikwekweto mu mpolampola.
Abakwate basindikiddwa ku alimanda mu kkomero lye Tororo okutuusa nga 15 October,2024 lwebanaleetebwa mu kooti bawozesebwe.
Bino bijjidde ng’ abayizi ku mutendera gwa Senior eyokuna lwebayisibwa mu mateeka g’ebigezo ebisuubirwa okutandika mu butongole ku monday ya wiiki ejja nga 14 October,2024.