Bya namunye news
· Mbu yakozesa Abacuba okumutuulira ebigezo n’asiba ekiwaani!
LOOYA omukambwe, Hassan Male Mabirizi, awandikidde akulira Yunivaasite ya Cavendish e Kansanga ng’ayagala eyimirize eby’okuttira Bobi Wine diguli y’amateeka. Mabirizi, agamba nti yeewunyizza nnyo Omubanda, okubeera nga bwe yali ayogerako n’abantu, yategeeza nti ‘Magistrate’ w’e Nakawa nti mulamuzi ‘Judge’, ekintu kye basomesa n’abaana abaakatandika. Ono agamba nti kiyinzika okuba ng’engeri Bobi gy’atambula ennyo, yapangisa ABACUBA ne bamukolera waaka n’ebigezo, mbu olwo n’asiba ensi akawaani nti DIGULI y’amateeka agisomye n’agimala era n’ayita
*Mabirizi, ayagala bamuwe n’ebibuuzo Bobi by’azze akola, yeekebejje oba ddala ogwo mukono gwa Bobi Wine omutuufu, era ng’ekyo agenda kukituukako ng’akozesa abakugu mu by’okuwandiika abamanyiddwa nga ‘Handwriting Experts’
*Era awandikidde n’akakiiko ka National Council for Higher Education, nti aba CAVENDISH bwe beesisiggiriza ne batikkira Bobi diguli, agenda kubaggulako emisango mu kkooti diguli eyo esazibwemu —-ebirala birabe mu kiwandiiko kino wansi…