GUNO OMULAMBO GUTIISA! Owa Boda Lubyanza afiiridde mu kazigo ke atabudde ab’e Butambala

N’OKUTUUSA kati, aba BODABODA n’abatuuze b’omu Ggombola y’e Ngando, mu Disitulikiti y’e Butambala, bakyali mu nnyiike, ensisi n’okunyolwa, oluvannyuma lw’omuvuzi wa BODA, abasinga gwe babadde baakazaako erya ‘LUBYANZA’ okufiira mu kazigo k’abadde apangisa akatali kakube ppulasita.

Omulambo gwa LUBYANZA w’e Butambala, Ngando nga guli mu kazigo mwe baagusanze!

Omu ku batuuze ng’amannya gasirikiddwa, ategeezezza Omusasi waffe, nti Lubyanza ono, abasinga gwe babadde bamanyiiko erya Henry, abadde taluddeeko ku kyalo, wabula nga kye beekakasa nti abadde muwuulu nga mukazi gwe abadde ky’ajje amugobe.

OMULAMBO GUMAZE WIIKI EMU MU KAZIGO: Omutuuze ono, nga naye muvuzi wa BODA, ayongeddeko nti omulambo baagusanze gwonna nga gugezze,  ng’ali mu kawale ak’omunda ng’alunga we yali afa waaliwo ensiitaano n’addala nga yeerwanako. Mu kazigo, abatuuze baasanzeemu amaseppiki, BODA ye, wuufa gaboggola n’ebirala.

Abatuuze nga bazze okulaba ogubadde

KIKI EKYASSE LUBYANZA W’E NGANDO?: Abatuuze, batutegeezezza, nti LUBYANZA ono, ayinza okubeera ng’alina ekirwadde ekyamugwira, ate nga musajja wattu muwuulu, bwatyo nga talina mukazi oba muntu yenna ayamba, bwekityo ekirwadde ne kimutwala ewa ssenkaaba. Gye batambuliza emigongo ng’obwato! Omu ku bakulembeze mu kitundu, asabye abatuuze, okubeera abeegendereza, nga beeyanjula mu LC, nga kwogasse n’okufuna omuntu gw’obeera naye mu nnyumba ne bwabeera waaluganda lwo.

>>>>>> 

Bya Musasi Waffe

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *