Bya mugula@namunyenews
Ekitongole kya Poliisi kifulumizza okulabula ku kwekalakaasa okutegekeddwa okubaawo ku Lwokubiri nga July 23, 2024.
Okusinziira ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa omwogezi wa poliisi, Rusoke Kituuma, waliwo kaweefube w’okukunga abantu agenda mu maaso ku mikutu gya yintaneeti ng’asaba abantu okutambula okugenda mu palamenti.

Omwogezi wa poliisi mu Ggwanga Rusoke Kituuma
“Poliisi ya Uganda etegeezebwa mu ngeri eyesigika ku kaweefube w’okukunga abantu agenda mu maaso ku mikutu gya yintaneeti ng’asaba abantu okutambula okugenda mu palamenti. Abategesi abatanategerekeka basaasaanyizza ebipande ebikubiriza abantu okukung’aana ku nguudo za Kampala zonna ku Lwokubiri nga July 23, 2024 kyokka essaawa lw’okutandika n’ebikwata ku nteekateeka tebitegeerekeka bulungi,” bwe yagambye.
Abategesi abatannaba kutegerekeka basaasaanyizza ebipande ebikubiriza bannansi okukungaana ku nguudo za Kampala zonna, kyokka ebikwata ku ssaawa y’okutandika n’ebikwata ku nteekateeka eno tebinnaba kutegeerekeka.
Rusooke yakikkaatirizza nti waliwo obutabanguko olw’obutaba na bwerufu mu nteekateeka y’omukolo guno. “Okusinziira ku butabeera bwerufu n’okuyinza okuvaako akavuyo, poliisi erabula nnyo obutagenda mu maaso n’okutambula kuno,” bwe yategeezezza.
Omwogezi wa poliisi yategeezezza bulungi nti wadde eddembe ly’okwekalakaasa mu mirembe ligenda kussibwamu ekitiibwa, Poliisi tegenda kugumiikiriza kaweefube yenna ow’okukuma omuliro mu bantu.
“Poliisi ya Uganda efulumya okulabula okutegeerekeka obulungi ku kugezaako okukuma omuliro mu bantu oba okumenya embeera z’abantu nga bayita mu kwekalakaasa okutafugibwa,” Rusoke bwe yazzeemu.
Poliisi yasabye abantu ssekinnoomu abaagala okukozesa eddembe lyabwe, gamba ng’eddembe ly’okukuŋŋaana n’okwekalakaasa, okukolagana ne poliisi. Enkolagana eno nkulu nnyo okulaba ng’okwolesebwa kuno okw’eddembe tekuwambibwa bantu ssekinnoomu abalina ebigendererwa by’obumenyi bw’amateeka.
“Eddembe ly’okwekalakaasa mu mirembe lijja kussibwamu ekitiibwa, naye poliisi tegenda kugumiikiriza kugezaako kukuma mu bantu kavuyo,” Rusooke bwe yakakasizza. ”Poliisi ekubiriza abantu abaagala okukozesa eddembe lyabwe bulijjo okukolagana nayo okulaba nga tebayamba bantu ba bigendererwa ebikusike okuwamba ebigambo bino okutuukiriza ebigendererwa by’obumenyi bw’amateeka.”
Ekiwandiiko kya poliisi kiddiridde wiiki nnamba nga bavubuka ba Kenya okwekalakaasa okw’effujjo nga bawakanya ebbago ly’etteeka ly’ebyensimbi n’ensaasaanya ya gavumenti ya William Ruto mu ngeri ey’obukambwe. Abavubuka bano beeyiye ku nguudo ne balumba ekizimbe kya palamenti ekiwalirizza ababaka ba palamenti okudduka olw’obulamu obw’omuwendo. Abeekalakaasi baayonoonye ebisenge nga tebannayokya kitundu ku kizimbe kya palamenti. Abavubuka 15 baakubiddwa amasasi ab’ebyokwerinda