*Omusimbi ogumusubye lwa butagenda ku LDC
BYA MUSASI WAFFE
W’OSOMERA bino, nga Looya w’omu Kampala omukambwe era atanywa guteeka, Male Mabiriizi Hassan Kiwanuka atambula akaga ng’eyakwana ow’okumpi, oluvannyuma lw’omulamuzi wa kkooti y’e Mmengo, Esther Nasambu, okulagira Palamenti emuliyirire ssente obukadde 10 obwa Uganda. Omulamuzi Nasambu, yasinzidde ku mpaaba Mabiriizi gye yateekayo nga yeemulugunya nti yagenda ku Palamenti ng’ayagala emuwe ebikwata ku Bobi Wine okuli; Yasomera wa, alina emyaka emeka, yafuna ‘Marks’ mmeka, ani yamusomesa, alina emyaka emeka, bazadde be n’ebirala, wabula abakulu ku Palamenti ne bamugamba nti by’ayagala okufuna tebabirina mu ‘DATA BASE’ yaabwe, teebakoma okwo, baamutambuzanga kumpi bw’oya kumuggwa ku ntumbwe nti komawo jjo jjuuzi. Mabirizii we yasabira ebyo, nga Bobi akyali MP wa Kyaddondo East, era omulamuzi yawadde ebiragiro bino;
*Nti Palamenti yakola nsobi obutawa biwandiiko bikwata ku Bobi Wine, nga yeekwasa mbu tebirina era yayogera byogere kyokka nga yali mukozi wa Palamenti, omulamuzi yeewunyizza ekitongole kya gavumenti nga Palamenti obutabeera na bikwata ku babaka, nti ekyo kiraga emirimu egikola mu ngeri ya kadibe ngalye ngémbwa etunda omuzigo. Agambye singa ebiwandiiko baabiwa Male, kyandimuyambye okumanya oba Bobi ofiisi eyo agirimu mu bumenyi bw’amateeka oba nedda, oba Omubanda wa Kabaka yasoma oba yalinga mu ‘kukuba ssada’.
*Mabiriizi bamuliyirire obukadde 10 olw’obudde bw’ataddemu, ssente, okunoonyereza, okukubisa empapula n’ebiringa ebyo…
*MABIRIIZI TOLI ‘ENROLLED ADVOCATE’:
Omulamuzi alina ssente z’agaanye basasule Mabiriizi ng’agamba nti teyagenda ku LDC kusoma mwaka ogwo ogusembayo ogwetaagibwa Looya yenna singa abeera waakuwandiikibwa n’ekibiina ekitwala bannamateeka, era wano yawadde eky’okulabirako ky’omusango gwa Mabiriizi ne ssaabawolereza wa Gavumenti…
*Nti okufuna ebikwata ku babaka, tekiriiimu sitaani yenna, kubanga kiyamba eggwanga okubeera n’abakulembeze abatali ba kiboggwe, era abénsa, abeesigika, abatali ba nziro, era n’okuwa embalirira eri abantu ba bulijjo abasasula omusolo omungi gwe bababibina enkye néggulo…
Ensala yÓmulamuzi mu bujjuvu, girabe wansi wano….