Ebyewuunyisa ku ddiini NRM gye yatandikawo okuwugulaza Bannayuganda emyaka 38, babalabudde okusiibanga mu kkanisa!

SSABAWANDIISI wa NRM, Richard Todwong, yasinzidde mu disitulikiti y’e Kagadi, mu kimu ku ‘mawonezo’ g’enzikiriza ya Owobusobozi Omukama Bisaka n’asaba bannadiini nti ng’oggyeko okukubiriza abagoberezi baabwe okusaba, wabula era babakubirize okukola ennyo okusobola okweggya mu bwavu.
Todwong, yategeezezza abagoberezi b’enzikiriza y’Obumu eya Owobusobozi Bisaka bo gwe bayita ‘Katonda’ waabwe, nti eby’okusiiba mu makanisa okuva ku Mmande okutuusa ku Ssande nga basaba basaanye babiveeko, wabula beenyigire ne mu bintu ebivaamu ssente, gamba ng’okwegatta ku nkola gavumenti z’etandiseewo nga PDM n’endala.

Olubiri amatiribona mwe baaziika Bisaka, abagoberezi be baamuyitanga ‘Katonda’ era mbu tafa, kyokka kyababuukako ono bwe yafa era n’agenda etagenda badda! -Namunye


Todwong, yagambye nti omuntu omuyala n’essaala olumu gy’asaba abeera tagitegeera bulungi. Ono yeebazizza ab’enzikiriza eno ngeno ne mu Kampala mulimu abagikkiririzaamu, okuwagira ennyo gavumenti ya NRM ekulemberwa Pulezidenti Yoweri Museveni.

Wano abagoberezi ba Bisaka nga bawanise obutabo bwa ‘Yellow’, mu kitabo kya Bayibuli ekya Hosea 4:6, kitulambika nti abantu babula olw’obutamanya, ate n’amateeka g’ensi gatugamba nti obutamanya tebukuggyisaako musango


ENO DDIINI OBA TTABI LYA NRM? Wabula abategeera eby’omunda, bagamba nti kino bye bimu ku bidiinidiini NRM by’ezze eteekawo okusobola okuwugulaza Bannayuganda n’okwenywereza mu buyinza. Omutandisi w’enzikiriza eno, abakkiriza be baagamba nti tafa, wabula bano kyababuukako bwe yafa, wabula okumanya tebaamatira, baamuziika mu Lubiri lwe olutemya ng’omuntu e Kibaale. Era omubiri gwe baagukaza bukaza nti n’abeemirembe egiriddawo nabo baligulabangako kifuuke eky’obulambuzi.

KYOKKA YALI MUSOMESA MU EKLEZIA: Kyewuunyisa nti Bisaka, mu buvubuka bwe, yasomesanga kalimwezi mu Eklezia Katolika, era kitaawe yali musajja musomi nnyo nga tagwa mmisa era nga y’omu ku basoma amasomo mu Eklezia w’Omukama. Teyakoma okwo, yaliko mu kkwaya ya Parish y’e Bujuni mu Kibaale, naye abantu baalabira awo ng’omusajja ono eyali mukoma mudaali ng’embeera ze zitandika okukyuka!

Okumanya bano ba NRM abawedde emirimu, ne langi basinga kwambala za kyenvu- Yellow ez’ekibiina ekiri mu buyinza n’enjeru.

Bano balina n’ennaku ez’enjawulo ze bakkiririzaamu era ze basabirako, gamba nga Olwokubiri olusemba mu mwezi, nti bakkiriza 2 erimu amaanyi ameekusifu, wabula eddiini eno abagoberezi ebasinza mu Kibale, Kagadi, Hoima, Mubendem Mityana ne Disitulikiti eziriranyeewo…. Mu Kampala ssi bangi nnyo nga basinga mu bitundu nga Nankulabye nga ku bitaala, Makerere, Kasubi, Mpigi ne Mukono…

Binoonyerezeddwa…


Bikuwandikiddwa Musajja wa Kabaka

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *