OBUWUMBI BWA SILINGI 5.1 BWAKUSASULWA ABAALI ABALWANYI MU WEST NILE BANK FRONT

Bya namunyenews 

Minisita w’eggwanga ow’ebyokwerinda n’abaazirwanako (Veteran Affairs), Hon. Huda Abason Oleru olwaleero alangiridde nga Gavumenti ya Uganda bw’egenda okusasula obuwumbi bwa silingi 5.1 eri abantu 4,901 abaali abalwanyi ba West Nile Bank Front etakyaliwo.

Owek. Oleru agamba nti kino kyaddiridde Kabineti okuyisa ensimbi zino nga 25 April 2024 okusasula abaliko abalwanyi ,mu mwaka gw’ebyensimbi guno n’obuwumbi bwa Silingi 21 eri Uganda “National Rescue Front I” (UNRFI) n’abantu abalala abasigaddewo okuva mu (UNFRII) ezigenda okusasulwa mu mbalirira y’omwaka gw’ebyensimbi omwaka gw’ebyensimbi 2024/2025.

Kino kigenda kuba kya disitulikiti okuli Pakwach, Zombo, Nebbi, Madi-Okolo, Arua, Maracha, Terego, Koboko, ne Yumbe. Obongi, Moyo, ne Adjumani.

Ebibiina bino mwalimu ekitongole kya Uganda National Rescue Front I (UNRFI), Uganda National Rescue Front II ekya Maj Gen Ali Bamuze, Uganda National Rescue Front II ekya Brig Nasuru Ezaga, ne West Bank Front ekyakulemberwa Maj Gen Juma Oris Abdallah.

Owek. Oleru yayogeddeko nti gavumenti yassa omukono ku ndagaano z’emirembe n’ebibiina eby’enjawulo ebitakyaliwo okuggyako “West Nile Bank Front” (WNBF), wadde ng’obuyeekera buno mu ngeri ey’omukwano bwatuukiddwaako ng’amagoba g’emirembe mukweeyama, nga kati gavumenti neetegefu okutuukiriza ng’okusasula ssente z’okusengula abantu package eri abaali abalwanyi, okuggyako UNRFI yokka n’emisango egyasigalawo egya UNRFII ng’ebibinja ebirala ebyali tebikyaliwo byasasulwa omutemwa gwabyo.

Ensasula eno egenda kutongozebwa mu butongole nga 8th May 2024 mu Disitulikiti y’e Koboko.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *